Till Tema modersmål

Tema modersmål - luganda

2011-11-21 19:34

ENVUBU

ENVUBU

Envubu nsolo nnene nnyo.Ebeera mu mazzi ne ku lukalu. Eweza

mita (ebifuba) nga 3 - 42. Ate erina obugulumivu bwa mita (ekifuba)

nga 1.6. Ezitowa kg. 1500 - 3200. Muzito ekifo ekwata kya kuna mu nsi

yonna. Ebifo ebisooka bikwatibwa ebika by'enjovu bibiri, n'enkula. Omubiri

gwayo munene nnyo, amagulu mampi, omutwe munene ddala. Amannyo

mawanvu nnyo, gayinza okuweza cm 50 (ag'ennume).

Envubu zibeera mu ggana lyansolo nga 15 - 30. Ezisinga obungi mu ggana

ziba nkazi n'obwana bwazo nga zikulirwa ennume emu. Ennume zitera okulwanagana nga buli emu eyagala okwefuga enkazi.

 

Emisana envubu zibeera mu mazzi okweweweeza ku bbugumu. Enjuba bw'egolooba nga zigenda ku ttale okulya omuddo. Obudde buba busasaana

nga ziddayo mu mazzi. Ensolo zino zisangibwa mu bukiikaddyo bw'eddungu Sahara mu migga ne mu nnyanja. Mu Uganda tuzirina mu bungi. Envubu gumu ku miziro Abaganda gye tweddira. Mu bitundu by'Afirika ebimu omuwendo gwazo gukendedde olw'abantu okuziyigga okuzirya ennyama. Mu Uganda tetulya nnyama ya nvubu.

Envubu zirina omugaso munene mu mzzi mwe zibeera, olwokuba nti zigenda ku ttale ne zirya omuddo. Bwe zikomawo mu mazzi nga zipama mu. Ebyennyanja biwoomerwa nnyo obusa bwazo.

 

 
2010-05-20 11:48

Ebyafaayo

ISRAEL YAFOOTOOLA IDI AMIN

(Bya Dr. Kiwanuka Luyirika J.)

Mu bufunze:

Mu myaka gye 70 ettemu lyayitirira mu nsi yonna. Ensi eyasinga okukosebwa yali Israel. Kino kyali kyekwanaganya n'ensonga za Palestine.

Ennyonyi ya Air France yawambibwa n'etwalibwa Entebe. Abaagiwamba baafuna obuwagizi bwa Idi Amin eyali pulezidenti wa Uganda mu nsangi ezo. Abasaabaze abaagirimu, naddala abo abaalina ebitambulizo bya Israel obulamu bwabwe bwali mu katyaabaga.

Läs mer...
 
2011-01-25 17:38

Emmese Enzira

EMMESE ENZIRA

emmese 

Emmese entendeke bw'etuuka awali bbomu ng'etakulawo

Emmese, naddala ezo mu Afirika, zitendekebwa okutegulula bbomu ezimanyiddwa mu nnimi ezenjawulo nga "MAYINI". Bbomu zino za kabi nnyo. Zisse n'okulemaza abantu mu nsi nga Mozambiki,  Angola, Kosovo, Abisinia (Ethiopia), Bosnia, Kambodia, n'endala.

Läs mer...
 
2009-12-14 11:46

FLORENCE NIGHTINGALE (1820 – 1910)

FlorenceFlorence Nightingale yali muwala Mungereza nga mujjanjabi. Ye yatandikawo obujjanjabi obw’omutindo. Yazaalibwa mu kibuga Florence ekiri mu Italy. Obulamu bwe bwonna yabumala yettanira kujjanjaba bajaasi abaafunanga ebisago mu ntalo n’abalwadde abalala.

FLORENCE_NIGHTINGALE.doc

 
2009-12-14 11:15

NNAKINSUNGWE

semenya

Omuwala Caster Semenya, enzaalwa ya South Africa tadduka aweneenya mbwa. Kyokka yafuna ekizibu ebbanga ttono gye livuddeko, anti afaanana ng’omulenzi. Kino kyaleetera abasazi b’empaka ze yetabamu okumutankana oba muwala oba mulenzi.

NNAKINSUNGWE.doc

 
2009-12-14 10:59

ALFRED NOBEL

nobelAlfred Nobel yazaalibwa mu Stockholm nga 21 Mukulukusa 1833. Mutabani wa Immanuel ne Andriette Ahisell Nobel. Kitaawe yali yinginiya era nga muvumbuzi. Yazimba ebizimbe bingi n’entindo mu Stockholm.

ALFRED_NOBEL.doc

 
  • «
  •  Första 
  •  Föregående 
  •  1 
  •  2 
  •  3 
  •  4 
  •  5 
  •  6 
  •  Nästa 
  •  Sista 
  • »
Sida 1 av 6

Flag-map_of_Uganda_svg

Mpuliziganya

bukedde
Mawulire

connectuganda
Ladiyo
radiosimba

Online keyboard

keyboard